Surah Muhammad
Surah Muhammad is chapter 47 of the Quran, with 38 verses. This page presents the Arabic text with a Luganda translation, verse by verse.
ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ أَضَلَّ أَعۡمَٰلَهُمۡ
Abo abaakafuwala nebaggya abantu ku kkubo lya Katonda (Katonda) yayonoona emirimu gyabwe
Ayah 1وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَءَامَنُواْ بِمَا نُزِّلَ عَلَىٰ مُحَمَّدࣲ وَهُوَ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّهِمۡ كَفَّرَ عَنۡهُمۡ سَيِّـَٔاتِهِمۡ وَأَصۡلَحَ بَالَهُمۡ
Ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu era nebakkiriza ebyo ebyassibwa ku Muhammad, era nga g’emazima agava ewa Mukama omulabirizi waabwe (abo Katonda) yabasangulako ebisobyo byabwe era naalongoosa embeera yaabwe
Ayah 2ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱتَّبَعُواْ ٱلۡبَٰطِلَ وَأَنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّبَعُواْ ٱلۡحَقَّ مِن رَّبِّهِمۡۚ كَذَٰلِكَ يَضۡرِبُ ٱللَّهُ لِلنَّاسِ أَمۡثَٰلَهُمۡ
Ekyo kiri bwekityo lwakuba nti mazima bo abaakafuwala baagoberera ebitali bituufu, ate nga abo abakkiriza baagoberera amazima agava eri Mukama omulabirizi waabwe, bulijjo Katonda bwatyo akubira abantu ebifaananyi byabwe (bagerageranye)
Ayah 3فَإِذَا لَقِيتُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَضَرۡبَ ٱلرِّقَابِ حَتَّىٰٓ إِذَآ أَثۡخَنتُمُوهُمۡ فَشُدُّواْ ٱلۡوَثَاقَ فَإِمَّا مَنَّۢا بَعۡدُ وَإِمَّا فِدَآءً حَتَّىٰ تَضَعَ ٱلۡحَرۡبُ أَوۡزَارَهَاۚ ذَٰلِكَۖ وَلَوۡ يَشَآءُ ٱللَّهُ لَٱنتَصَرَ مِنۡهُمۡ وَلَٰكِن لِّيَبۡلُوَاْ بَعۡضَكُم بِبَعۡضࣲۗ وَٱلَّذِينَ قُتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ فَلَن يُضِلَّ أَعۡمَٰلَهُمۡ
Olwo bwe muba nga musisinkanye abo abaakafuwala (mu lutalo) muteme ensingo, okutuusiza ddala nga mubanafuyizza, munyweze empingu (zemusiba nazo abawambe) olwo nno kiri gyemuli okubata oluvanyuma (lwo kubawamba) oba okubakkiriza okwenunula, (ekyo mukikole bwemutyo) okutuusa olutalo lweruggwa. Ekyo bwekityo bwekiri, naye singa Katonda yayagala yandibewangulidde, wabula (ekimugaana okukola ekyo) lwakwagala kugezesa bamu mu mmwe ng'akozesa abalala. Era abo abattibwa nga bali mu kulwana mu kkubo lya Katonda, (Katonda) tagenda kwonoona mirimu gyabwe
Ayah 4سَيَهۡدِيهِمۡ وَيُصۡلِحُ بَالَهُمۡ
Ajja kubalungamya era alongoose nembeera yaabwe
Ayah 5وَيُدۡخِلُهُمُ ٱلۡجَنَّةَ عَرَّفَهَا لَهُمۡ
Era abayingize e jjana gyeyabategeeza edda
Ayah 6يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِن تَنصُرُواْ ٱللَّهَ يَنصُرۡكُمۡ وَيُثَبِّتۡ أَقۡدَامَكُمۡ
Abange mmwe abakkiriza singa mutaasa Katonda, ajja kubataasa, era anyweze ebigere byammwe (abagumye)
Ayah 7وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَتَعۡسࣰ ا لَّهُمۡ وَأَضَلَّ أَعۡمَٰلَهُمۡ
N'abo abaakafuwala okuzikirira kube ku bo, era Katonda yayonoona emirimu gyabwe
Ayah 8ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَرِهُواْ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ فَأَحۡبَطَ أَعۡمَٰلَهُمۡ
Ekyo lwakuba nti mazima bo bakyawa ebyo Katonda byeyassa, olwo nno nayonoona emirimu gyabwe
Ayah 9۞أَفَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۖ دَمَّرَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمۡۖ وَلِلۡكَٰفِرِينَ أَمۡثَٰلُهَا
Abaffe tebatambula mu nsi, olwo nno ne balaba nga bweyali enkomerero yaabo abaaliwo oluberyeberye lwabwe, (anti) Katonda yabazikiriza. Era abo abaakafuwala ba kutuukwako ekiringa ekyo
Ayah 10ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ مَوۡلَى ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَأَنَّ ٱلۡكَٰفِرِينَ لَا مَوۡلَىٰ لَهُمۡ
Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda ye mukuumi wa bakkiriza era nga ddala abakafiiri tebalina mukuumi
Ayah 11إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ جَنَّٰتࣲ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَتَمَتَّعُونَ وَيَأۡكُلُونَ كَمَا تَأۡكُلُ ٱلۡأَنۡعَٰمُ وَٱلنَّارُ مَثۡوࣰ ى لَّهُمۡ
Mazima Katonda ajja kuyingiza abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu e jjana. Ezikulukutira wansi waazo emigga, ate abo abaakafuwala beeyagala era ne balya ng'ensolo bwezirya, era omuliro bwe buddo bwabwe
Ayah 12وَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ هِيَ أَشَدُّ قُوَّةࣰ مِّن قَرۡيَتِكَ ٱلَّتِيٓ أَخۡرَجَتۡكَ أَهۡلَكۡنَٰهُمۡ فَلَا نَاصِرَ لَهُمۡ
Era ebitundu bimeka nga byo byali byamaanyi okusinga ekitundu kyo (Makkah)? ekyo ekyakugoba, abantu be bitundu ebyo twabazikiriza newataba abadduukirira
Ayah 13أَفَمَن كَانَ عَلَىٰ بَيِّنَةࣲ مِّن رَّبِّهِۦ كَمَن زُيِّنَ لَهُۥ سُوٓءُ عَمَلِهِۦ وَٱتَّبَعُوٓاْ أَهۡوَآءَهُم
Abaffe oyo aba ali ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi we ayinza okuba ngooyo emirimu gye emibi egyamulabisibwa okuba nti mirungi!, era (abantu abo) nebagoberera okwagala kwabwe
Ayah 14مَّثَلُ ٱلۡجَنَّةِ ٱلَّتِي وُعِدَ ٱلۡمُتَّقُونَۖ فِيهَآ أَنۡهَٰرࣱ مِّن مَّآءٍ غَيۡرِ ءَاسِنࣲ وَأَنۡهَٰرࣱ مِّن لَّبَنࣲ لَّمۡ يَتَغَيَّرۡ طَعۡمُهُۥ وَأَنۡهَٰرࣱ مِّنۡ خَمۡرࣲ لَّذَّةࣲ لِّلشَّٰرِبِينَ وَأَنۡهَٰرࣱ مِّنۡ عَسَلࣲ مُّصَفࣰّ ىۖ وَلَهُمۡ فِيهَا مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ وَمَغۡفِرَةࣱ مِّن رَّبِّهِمۡۖ كَمَنۡ هُوَ خَٰلِدࣱ فِي ٱلنَّارِ وَسُقُواْ مَآءً حَمِيمࣰ ا فَقَطَّعَ أَمۡعَآءَهُمۡ
(Abaffe) e jjana eyo abatya Katonda gye balaganyisibwa (egenda kuba nga) erimu emigga egy'amazzi agatayonooneka nemigga gya mata agatakyuse mpoma yaago, n’emigga egy'omubisi oguliwoomera abanywi n'emigga gya asaali omusengejje, nga bali mu yo balifuna ebibala byonna, era balifuna mu yo ekisonyiwo okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe, oyinza okugigerageranya ku oyo owokutuula mu muliro obugenderevu nga era balinywesebwa olwegye lwa mazzi, olwo nno negakutulakutula ebyenda byabwe
Ayah 15وَمِنۡهُم مَّن يَسۡتَمِعُ إِلَيۡكَ حَتَّىٰٓ إِذَا خَرَجُواْ مِنۡ عِندِكَ قَالُواْ لِلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ مَاذَا قَالَ ءَانِفًاۚ أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ طَبَعَ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ وَٱتَّبَعُوٓاْ أَهۡوَآءَهُمۡ
Era mu bo mulimu abakuwuliriza (era nebalaga nti bagonvu) okutuusa bwe bafuluma okuva wooli, bagamba abo abaweebwa okumanya nti, abadde agambaki emabegako awo?, abo beebo Katonda beyassa envumbo ku mitima gyabwe era nebagoberera okwagala kwabwe
Ayah 16وَٱلَّذِينَ ٱهۡتَدَوۡاْ زَادَهُمۡ هُدࣰ ى وَءَاتَىٰهُمۡ تَقۡوَىٰهُمۡ
Ate abo abaalungama (Katonda) abongera bulungamu era naabawa okutya kwabwe (Katonda)
Ayah 17فَهَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّا ٱلسَّاعَةَ أَن تَأۡتِيَهُم بَغۡتَةࣰۖ فَقَدۡ جَآءَ أَشۡرَاطُهَاۚ فَأَنَّىٰ لَهُمۡ إِذَا جَآءَتۡهُمۡ ذِكۡرَىٰهُمۡ
Abaffe balina kyebalindirira okugyako ekiseera ekyenkomerero okuba nga kibaggyira kibwatuukira ate nga ddala (obumu) ku bubonero bwakyo bumaze okujja, baligyawa okubuulirirwa kwabwe (okulibagasa ekiseera) bwe kiribagyira
Ayah 18فَٱعۡلَمۡ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا ٱللَّهُ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لِذَنۢبِكَ وَلِلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۗ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مُتَقَلَّبَكُمۡ وَمَثۡوَىٰكُمۡ
Kale manya nti mazima tewali kisinzibwa okugyako Katonda era osabe ekisonyiwo olwe byonoono byo, era abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi obasabire ekisonyiwo, era Katonda amanyi entambula zammwe (nga mujjulukuka okuva mu kifo ne mudda mu kirala n'okuva ku kikolwa ne mudda ku kirala) era amanyi obuddo bwa mmwe
Ayah 19وَيَقُولُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَوۡلَا نُزِّلَتۡ سُورَةࣱۖ فَإِذَآ أُنزِلَتۡ سُورَةࣱ مُّحۡكَمَةࣱ وَذُكِرَ فِيهَا ٱلۡقِتَالُ رَأَيۡتَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضࣱ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ نَظَرَ ٱلۡمَغۡشِيِّ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡمَوۡتِۖ فَأَوۡلَىٰ لَهُمۡ
Abo abakkiriza bagamba nti singa essura (eragira olutalo) essibwa, naye essura neemala essibwa nga eyogera mu bulambulukufu nga n'okulwana kwogerwako mu yo, olaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga bakutunuulira entunula ey’omuntu azirise ku lwokutya okufa. Ekyalisinze obulungi gyebali
Ayah 20طَاعَةࣱ وَقَوۡلࣱ مَّعۡرُوفࣱۚ فَإِذَا عَزَمَ ٱلۡأَمۡرُ فَلَوۡ صَدَقُواْ ٱللَّهَ لَكَانَ خَيۡرࣰ ا لَّهُمۡ
(Kwe) kugonda, n'ebigambo ebirungi, naye ekigambo bwe kimala okukakata, kale singa batuukiriza bye balagaanyisa Katonda kye kyalisinze obulungi gye bali
Ayah 21فَهَلۡ عَسَيۡتُمۡ إِن تَوَلَّيۡتُمۡ أَن تُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَتُقَطِّعُوٓاْ أَرۡحَامَكُمۡ
Abaffe musuubira nti singa mukulembera (ne muba abafuzi) nti munayonoona mu nsi ne mukutula enganda zammwe
Ayah 22أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَعَنَهُمُ ٱللَّهُ فَأَصَمَّهُمۡ وَأَعۡمَىٰٓ أَبۡصَٰرَهُمۡ
(Abakola ebyo) abo beebo Katonda beyakolimira naabaggala amatu era naaziba amaaso gaabwe
Ayah 23أَفَلَا يَتَدَبَّرُونَ ٱلۡقُرۡءَانَ أَمۡ عَلَىٰ قُلُوبٍ أَقۡفَالُهَآ
Abaffe tebetegereza Kur’ani, oba emitima gyegiriko ekkufulu zaagyo
Ayah 24إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱرۡتَدُّواْ عَلَىٰٓ أَدۡبَٰرِهِم مِّنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُمُ ٱلۡهُدَى ٱلشَّيۡطَٰنُ سَوَّلَ لَهُمۡ وَأَمۡلَىٰ لَهُمۡ
Mazima abo abakyuka ne badda gyebaava (nebaleka obusiraamu) oluvanyuma lw’obulungamu okuberambikira, Sitane yeyabibalaga nti birungi era nabasuubiza ebyobulimba
Ayah 25ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُواْ لِلَّذِينَ كَرِهُواْ مَا نَزَّلَ ٱللَّهُ سَنُطِيعُكُمۡ فِي بَعۡضِ ٱلۡأَمۡرِۖ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ إِسۡرَارَهُمۡ
Ekyo nno, lwakuba nti mazima bo, bagamba abatayagala Katonda byeyassa, nti tujja kubagondera mu bintu ebimu. Era bulijjo Katonda amanyi ebyama byabwe
Ayah 26فَكَيۡفَ إِذَا تَوَفَّتۡهُمُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ يَضۡرِبُونَ وُجُوهَهُمۡ وَأَدۡبَٰرَهُمۡ
Olwo nno baba ngeri ki Malayika bwezibatusaako entuuko zaabwe, nga zikuba ebyenyi byabwe n’obutuuliro bwabwe
Ayah 27ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمُ ٱتَّبَعُواْ مَآ أَسۡخَطَ ٱللَّهَ وَكَرِهُواْ رِضۡوَٰنَهُۥ فَأَحۡبَطَ أَعۡمَٰلَهُمۡ
Ekyo (bwekityo bwekiriba) olwokuba nti mazima bo baagoberera ebyo ebinyiiza Katonda nebakyawa okusiima kwe, olwo nno naayonoona emirimu gyabwe
Ayah 28أَمۡ حَسِبَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ أَن لَّن يُخۡرِجَ ٱللَّهُ أَضۡغَٰنَهُمۡ
Abaffe abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe basuubira nti Katonda tagenda kuggyayo bukukuuzi bwabwe (bwe balina ku Nabbi Muhammad)
Ayah 29وَلَوۡ نَشَآءُ لَأَرَيۡنَٰكَهُمۡ فَلَعَرَفۡتَهُم بِسِيمَٰهُمۡۚ وَلَتَعۡرِفَنَّهُمۡ فِي لَحۡنِ ٱلۡقَوۡلِۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ أَعۡمَٰلَكُمۡ
Singa twagala twandibakulaze, olwo nno wandibategedde olwo bubonero bwabwe, era ojja kubategeerera ddala okusinziira ku njogera yaabwe. Era Katonda amanyi emirimu gyammwe
Ayah 30وَلَنَبۡلُوَنَّكُمۡ حَتَّىٰ نَعۡلَمَ ٱلۡمُجَٰهِدِينَ مِنكُمۡ وَٱلصَّٰبِرِينَ وَنَبۡلُوَاْ أَخۡبَارَكُمۡ
Era tujja kubagezesa okutuusa lwetunategeera abalafubana mu mmwe mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nabagumikiriza, era tujja kugezesa ebigambo bya mmwe
Ayah 31إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَشَآقُّواْ ٱلرَّسُولَ مِنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُمُ ٱلۡهُدَىٰ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـࣰٔ ا وَسَيُحۡبِطُ أَعۡمَٰلَهُمۡ
Mazima abo abaakafuwala nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda, nebeesimba mu mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okubeeyoleka, (abo) tebalina kabi konna kebayinza kutuusa ku Katonda, era wa kusazaamu emirimu gyabwe
Ayah 32۞يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَ وَلَا تُبۡطِلُوٓاْ أَعۡمَٰلَكُمۡ
Abange mmwe abakkiriza mugondere Katonda, era mugondere omubaka, era temwononanga emirimu gya mmwe
Ayah 33إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ مَاتُواْ وَهُمۡ كُفَّارࣱ فَلَن يَغۡفِرَ ٱللَّهُ لَهُمۡ
Mazima abo abaakafuwala era nebassa emisanvu mu kkubo lya Katonda, oluvanyuma nebafa nga bakafiiri, Katonda tagenda kubasonyiwa
Ayah 34فَلَا تَهِنُواْ وَتَدۡعُوٓاْ إِلَى ٱلسَّلۡمِ وَأَنتُمُ ٱلۡأَعۡلَوۡنَ وَٱللَّهُ مَعَكُمۡ وَلَن يَتِرَكُمۡ أَعۡمَٰلَكُمۡ
Temufotokereranga ne musaba emirembe ate nga mmwe ba waggulu, era nga Katonda ali wamu na mmwe, era nga tagenda kukendeeza mpeera ya mirimu gya mmwe
Ayah 35إِنَّمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا لَعِبࣱ وَلَهۡوࣱۚ وَإِن تُؤۡمِنُواْ وَتَتَّقُواْ يُؤۡتِكُمۡ أُجُورَكُمۡ وَلَا يَسۡـَٔلۡكُمۡ أَمۡوَٰلَكُمۡ
Mazima obulamu bwe nsi muzannyo na binyumu, naye bwe mukkiriza era nemutya Katonda, ajja kubawa empeera ya mmwe, ate nga tabasabye mmali ya mmwe
Ayah 36إِن يَسۡـَٔلۡكُمُوهَا فَيُحۡفِكُمۡ تَبۡخَلُواْ وَيُخۡرِجۡ أَضۡغَٰنَكُمۡ
Singa agibasaba nabapeeka mujja kukodowala, olwo nno nassa mu bbanga obukukuuzi bwa mmwe
Ayah 37هَٰٓأَنتُمۡ هَٰٓؤُلَآءِ تُدۡعَوۡنَ لِتُنفِقُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ فَمِنكُم مَّن يَبۡخَلُۖ وَمَن يَبۡخَلۡ فَإِنَّمَا يَبۡخَلُ عَن نَّفۡسِهِۦۚ وَٱللَّهُ ٱلۡغَنِيُّ وَأَنتُمُ ٱلۡفُقَرَآءُۚ وَإِن تَتَوَلَّوۡاْ يَسۡتَبۡدِلۡ قَوۡمًا غَيۡرَكُمۡ ثُمَّ لَا يَكُونُوٓاْ أَمۡثَٰلَكُم
Abaffe mmwe, mmwe beebo abakowoolwa mube nga muwaayo mu kkubo lya Katonda, olwo nno mu mmwe ne mubaamu akodowala, so nga omuntu akodowala, mazima yekodowalira yekka ng’ate Katonda yatalina kyeyetaaga ate nga mmwe muli betaavu, naye bwe munakyuka (nemuva ku ddiini) ajja kuleeta abantu abalala abatali mmwe, oluvanyuma tebagenda kuba nga mmwe
Ayah 38