Surah Saba — Sheba
Surah Saba (Sheba) is chapter 34 of the Quran, with 54 verses. This page presents the Arabic text with a Luganda translation, verse by verse.
ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَهُ ٱلۡحَمۡدُ فِي ٱلۡأٓخِرَةِۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡخَبِيرُ
Ebitendo byonna bya Katonda, oyo nga bibye yekka, ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era ebitendo byonna bibye ku nkomerero era yye ye mugoba nsonga amanyi ennyo
Ayah 1يَعۡلَمُ مَا يَلِجُ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا يَخۡرُجُ مِنۡهَا وَمَا يَنزِلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ وَمَا يَعۡرُجُ فِيهَاۚ وَهُوَ ٱلرَّحِيمُ ٱلۡغَفُورُ
Amanyi ebyo ebiyingira mu nsi n'ebigifuluma, n'ebyo ebikka okuva mu ggulu n'ebyambuka mu lyo, era yye ye musaasizi omusonyiyi
Ayah 2وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَا تَأۡتِينَا ٱلسَّاعَةُۖ قُلۡ بَلَىٰ وَرَبِّي لَتَأۡتِيَنَّكُمۡ عَٰلِمِ ٱلۡغَيۡبِۖ لَا يَعۡزُبُ عَنۡهُ مِثۡقَالُ ذَرَّةࣲ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَآ أَصۡغَرُ مِن ذَٰلِكَ وَلَآ أَكۡبَرُ إِلَّا فِي كِتَٰبࣲ مُّبِينࣲ
Abo abaakaafuwala bagamba nti enkomerero tegenda kutujjira, bagambe nti nedda ndayidde Mukama omulabirizi wange (enkomerero) egenda kubajjira ddala (Mukama omulabirizi wange) omumanyi w'ebyekusifu, akantu akatono ennyo tekayinza kumubulako kakabe mu ggulu omusanvu oba mu nsi wadde akatono ennyo okusinga kwako wadde ekinene (tewali kintu kyonna) okugyako nga kiri mu kitabo ekinnyonnyofu
Ayah 3لِّيَجۡزِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِۚ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُم مَّغۡفِرَةࣱ وَرِزۡقࣱ كَرِيمࣱ
(Byonna bwe biryolesebwa) olwo nno (Katonda) alyoke asasule abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu. Abo balina ekisonyiwo ne riziki eweesa ekitiibwa
Ayah 4وَٱلَّذِينَ سَعَوۡ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابࣱ مِّن رِّجۡزٍ أَلِيمࣱ
Ate abo abakola kaweefube okulwanyisa ebigambo byaffe, abo balina ebibonerezo ebiruma olw'ebyonoono (byabwe)
Ayah 5وَيَرَى ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ ٱلَّذِيٓ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ هُوَ ٱلۡحَقَّ وَيَهۡدِيٓ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ
Bo abo abaaweebwa okumanya ebissibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo baliraba nga g’emazima era nga birungamya eri ekkubo lya nantakubwa ku mukono atenderezebwa
Ayah 6وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ هَلۡ نَدُلُّكُمۡ عَلَىٰ رَجُلࣲ يُنَبِّئُكُمۡ إِذَا مُزِّقۡتُمۡ كُلَّ مُمَزَّقٍ إِنَّكُمۡ لَفِي خَلۡقࣲ جَدِيدٍ
Abo abaakaafuwala (mu kujereegerera) bagamba nti abaffe tubalagirire omusajja anaabategeeza bwe munaaba muyuziddwa oluyuzibwa olw'amaanyi (nga muli mu ntaana ennyama n'ebaggwa ku magumba) mbu mazima mmwe muliddayo nemutondebwa bupya
Ayah 7أَفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَم بِهِۦ جِنَّةُۢۗ بَلِ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ فِي ٱلۡعَذَابِ وَٱلضَّلَٰلِ ٱلۡبَعِيدِ
Abaffe (okwogera bwatyo) atemeredde bulimba ku Katonda oba agudde eddalu, wabula abo abatakkiriza nkomerero bali mu bibonerezo na bubuze obw'ewala
Ayah 8أَفَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَىٰ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِن نَّشَأۡ نَخۡسِفۡ بِهِمُ ٱلۡأَرۡضَ أَوۡ نُسۡقِطۡ عَلَيۡهِمۡ كِسَفࣰ ا مِّنَ ٱلسَّمَآءِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةࣰ لِّكُلِّ عَبۡدࣲ مُّنِيبࣲ
Abaffe tebalaba ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe ebiri ku ggulu ne ku nsi, singa twagadde tuyinza okubamizisa ensi oba netubasuulako ekibajjo okuva waggulu, mazima mu ebyo mulimu akabonero (eky'okuyiga) eri buli muddu eyeenenyeza Katonda we
Ayah 9۞وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ مِنَّا فَضۡلࣰ اۖ يَٰجِبَالُ أَوِّبِي مَعَهُۥ وَٱلطَّيۡرَۖ وَأَلَنَّا لَهُ ٱلۡحَدِيدَ
Mazima twawa Dauda ebirungi okuva gye tuli, (nga bwe twagamba nti) abange mmwe nsozi mutendereze wamu naye nammwe ebinyonyi mukole bwe mutyo, era twamugondeza ekyuma
Ayah 10أَنِ ٱعۡمَلۡ سَٰبِغَٰتࣲ وَقَدِّرۡ فِي ٱلسَّرۡدِۖ وَٱعۡمَلُواْ صَٰلِحًاۖ إِنِّي بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرࣱ
(Netumugamba nti) kola ebyambalo by'olutalo, amakowe gakole nga genkana, era mukole emirimu emirungi mazima nze ndabira ddala ebyo bye mukola
Ayah 11وَلِسُلَيۡمَٰنَ ٱلرِّيحَ غُدُوُّهَا شَهۡرࣱ وَرَوَاحُهَا شَهۡرࣱۖ وَأَسَلۡنَا لَهُۥ عَيۡنَ ٱلۡقِطۡرِۖ وَمِنَ ٱلۡجِنِّ مَن يَعۡمَلُ بَيۡنَ يَدَيۡهِ بِإِذۡنِ رَبِّهِۦۖ وَمَن يَزِغۡ مِنۡهُمۡ عَنۡ أَمۡرِنَا نُذِقۡهُ مِنۡ عَذَابِ ٱلسَّعِيرِ
Ate Sulaiman twamugondeza empewo nga ekitundu kyetambula okuva kumakya okutuuka mu ttuntu kyanditambuliddwa mwezi, nga n'ekitundu kyetambula olw'eggulo kyalitambuliddwa mwezi, era twamukulukusiza ensulo z’ekikomo nga ne mu Majinni mulimu agaali mu buyinza bwe agamukolera byonna ku lw'ekiragiro kya Mukama Omulabiriziwe, ejinni lyonna eribula neriva ku kiragiro kyaffe tulikombesa ku bibonerezo ebyo muliro Sa-iri
Ayah 12يَعۡمَلُونَ لَهُۥ مَا يَشَآءُ مِن مَّحَٰرِيبَ وَتَمَٰثِيلَ وَجِفَانࣲ كَٱلۡجَوَابِ وَقُدُورࣲ رَّاسِيَٰتٍۚ ٱعۡمَلُوٓاْ ءَالَ دَاوُۥدَ شُكۡرࣰ اۚ وَقَلِيلࣱ مِّنۡ عِبَادِيَ ٱلشَّكُورُ
N'olwekyo nga gamukolera byonna byayagala nga ebifo ebisinzibwamu n'ebifaananyi, ebibumbe ne nsiniya ennene eziringa ebidiba, n'amaseppiki (amanene ennyo) agatava mu kifo, (netumugamba nti) abange abantu ba Dauda mukole olw'okwebaza (Katonda), wabula batono abeebaza mu baddu bange
Ayah 13فَلَمَّا قَضَيۡنَا عَلَيۡهِ ٱلۡمَوۡتَ مَا دَلَّهُمۡ عَلَىٰ مَوۡتِهِۦٓ إِلَّا دَآبَّةُ ٱلۡأَرۡضِ تَأۡكُلُ مِنسَأَتَهُۥۖ فَلَمَّا خَرَّ تَبَيَّنَتِ ٱلۡجِنُّ أَن لَّوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ٱلۡغَيۡبَ مَا لَبِثُواْ فِي ٱلۡعَذَابِ ٱلۡمُهِينِ
Bwe twamutuusaako okufa tewali kyagalaga kufa kwe okugyako ebiwuka by’omuttaka (enkuyege) ezaalya omuggo gwe gwe yatambula nga nagwo) olwo nno bwe yagwa amajinni gaakakasa nti singa gaali gamanyi ebyekusifu tegandibadde mu bibonyoobonyo ebinyoomesa
Ayah 14لَقَدۡ كَانَ لِسَبَإࣲ فِي مَسۡكَنِهِمۡ ءَايَةࣱۖ جَنَّتَانِ عَن يَمِينࣲ وَشِمَالࣲۖ كُلُواْ مِن رِّزۡقِ رَبِّكُمۡ وَٱشۡكُرُواْ لَهُۥۚ بَلۡدَةࣱ طَيِّبَةࣱ وَرَبٌّ غَفُورࣱ
Mazima abantu be Saba-i mu kitundu kyabwe baalinamu eky'okuyiga (nakyo baalina) ennimiro bbiri ku ddyo ne ku kkono (netubagamba nti) mulye mu bigabwa bya Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwebaze, (nga kino kye yabawa) kitundu kya nsi kirungi, ne Katonda mulabirizi musonyiyi
Ayah 15فَأَعۡرَضُواْ فَأَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ سَيۡلَ ٱلۡعَرِمِ وَبَدَّلۡنَٰهُم بِجَنَّتَيۡهِمۡ جَنَّتَيۡنِ ذَوَاتَيۡ أُكُلٍ خَمۡطࣲ وَأَثۡلࣲ وَشَيۡءࣲ مِّن سِدۡرࣲ قَلِيلࣲ
Baava ku kyabalagirwa netubasindikira mukoka omuyitirivu (eyawaguza zi daamu (amabibiro g'amazzi) essamba nezijjula amazzi), olwo nno nnimiro zaabwe netubawaanyisizaamu ennimiro endala bbiri ezijjudde ebyokulya ebikaawa n’emiti egitabala n’emiti gya Sidiri mitono tono
Ayah 16ذَٰلِكَ جَزَيۡنَٰهُم بِمَا كَفَرُواْۖ وَهَلۡ نُجَٰزِيٓ إِلَّا ٱلۡكَفُورَ
Ekyo kye twabasasula olw'obukaafiiri bwa bwe, ye ate tubonereza mu kusasula okw'ekyenkanyi mu ngeri eno okugyako abakaafiiri
Ayah 17وَجَعَلۡنَا بَيۡنَهُمۡ وَبَيۡنَ ٱلۡقُرَى ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَا قُرࣰ ى ظَٰهِرَةࣰ وَقَدَّرۡنَا فِيهَا ٱلسَّيۡرَۖ سِيرُواْ فِيهَا لَيَالِيَ وَأَيَّامًا ءَامِنِينَ
Netussa wakati waabwe ne wakati w’ebitundu ebyo bye twawa omukisa ebitundu ebirala nga bikwataganye (era nga bisoboka okuwummulirwamu) okubitambuliramu netukifuula kyangu (kale) mutambule mu byo ebiro n’emisana nga muli mirembe
Ayah 18فَقَالُواْ رَبَّنَا بَٰعِدۡ بَيۡنَ أَسۡفَارِنَا وَظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَحَادِيثَ وَمَزَّقۡنَٰهُمۡ كُلَّ مُمَزَّقٍۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتࣲ لِّكُلِّ صَبَّارࣲ شَكُورࣲ
Olwo nno (mu kifo ky'okwebaza) ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, ssa amabanga manene (okutuuka wetusobola okuwummulira) mu ngendo zaffe. Mu kukola ekyo nebaba nga beelyazaamaanya bokka, olwo nno netubafuula eky'okwogerako era netubayuzaayuza oluyuzaayuza. Mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza owa nnamaddala eyeebaza ennyo
Ayah 19وَلَقَدۡ صَدَّقَ عَلَيۡهِمۡ إِبۡلِيسُ ظَنَّهُۥ فَٱتَّبَعُوهُ إِلَّا فَرِيقࣰ ا مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Mazima Ibuliisu yatuukiriza endowooza ye nga akozesa bbo, olwo nno ne bamugoberera okugyako ekitundu ku bakkiriza
Ayah 20وَمَا كَانَ لَهُۥ عَلَيۡهِم مِّن سُلۡطَٰنٍ إِلَّا لِنَعۡلَمَ مَن يُؤۡمِنُ بِٱلۡأٓخِرَةِ مِمَّنۡ هُوَ مِنۡهَا فِي شَكࣲّۗ وَرَبُّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ حَفِيظࣱ
Tabangako na buyinza ku bo wabula (ekimufunyisa abagoberezi) lwakuba twagala tumanye oyo akkiriza olunaku lw’enkomerero nga tumwawula ku oyo alulinamu okubuusabuusa, bulijjo Mukama omulabirizi wo mulondoozi wa buli kintu
Ayah 21قُلِ ٱدۡعُواْ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَمۡلِكُونَ مِثۡقَالَ ذَرَّةࣲ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا لَهُمۡ فِيهِمَا مِن شِرۡكࣲ وَمَا لَهُۥ مِنۡهُم مِّن ظَهِيرࣲ
Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) musabe abo bemugamba nemuva ku Katonda, (wabula mukimanye nti) tebafuga kantu kenkana kanyinkuli mu ggulu omusanvu wadde mu nsi, era tebalina mugabo mu byombi era (Katonda) talina muyambi yenna ava mu bo wadde ava mu balala
Ayah 22وَلَا تَنفَعُ ٱلشَّفَٰعَةُ عِندَهُۥٓ إِلَّا لِمَنۡ أَذِنَ لَهُۥۚ حَتَّىٰٓ إِذَا فُزِّعَ عَن قُلُوبِهِمۡ قَالُواْ مَاذَا قَالَ رَبُّكُمۡۖ قَالُواْ ٱلۡحَقَّۖ وَهُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡكَبِيرُ
Era mu maasoge okuwolereza tekugenda kugasa (muntu yenna) okugyako oyo gwaliba akkirizza, okutuusa okutya bwe kuliba kuggyiddwa mu mitima gya bwe baligamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe agambyeki? (ba Malayika) baligamba nti (ayogedde) amazima, era yye wa waggulu omusukkulumu
Ayah 23۞قُلۡ مَن يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ قُلِ ٱللَّهُۖ وَإِنَّآ أَوۡ إِيَّاكُمۡ لَعَلَىٰ هُدًى أَوۡ فِي ضَلَٰلࣲ مُّبِينࣲ
Bagambe ani abagabirira okuva mu ggulu omusanvu n'e nsi, bagambe nti Katonda. Era mazima ffe oba mmwe tuli ku bulungamu oba ku bubuze obw'olwatu
Ayah 24قُل لَّا تُسۡـَٔلُونَ عَمَّآ أَجۡرَمۡنَا وَلَا نُسۡـَٔلُ عَمَّا تَعۡمَلُونَ
Bagambe nti temugenda kubuuzibwa ku ebyo bye twayonoona nga bwe tutagenda kubuuzibwa ku bye mukola
Ayah 25قُلۡ يَجۡمَعُ بَيۡنَنَا رَبُّنَا ثُمَّ يَفۡتَحُ بَيۡنَنَا بِٱلۡحَقِّ وَهُوَ ٱلۡفَتَّاحُ ٱلۡعَلِيمُ
Bagambe nti Mukama omulabirizi waffe agenda ku tukungaanya oluvanyuma asalewo wakati waffe mu mazima, anti yye ye mutaawuluza asinga, omumanyi ennyo
Ayah 26قُلۡ أَرُونِيَ ٱلَّذِينَ أَلۡحَقۡتُم بِهِۦ شُرَكَآءَۖ كَلَّاۚ بَلۡ هُوَ ٱللَّهُ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ
Bagambe nti mundage abo be munnyungako ne mubangattako, nedda tebaliiyo wabula yye ye Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga
Ayah 27وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا كَآفَّةࣰ لِّلنَّاسِ بَشِيرࣰ ا وَنَذِيرࣰ ا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ
Era tetwakutuma okugyako nga oli (mubaka) awa amawulire ag'essanyu (eri abakkiriza) era omutiisa (eri abatakkiriza) naye abantu abasinga obungi tebamanyi
Ayah 28وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
Era nebagamba nti eyo endagaano eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima
Ayah 29قُل لَّكُم مِّيعَادُ يَوۡمࣲ لَّا تَسۡتَـٔۡخِرُونَ عَنۡهُ سَاعَةࣰ وَلَا تَسۡتَقۡدِمُونَ
Bagambe nti mulina endagaano y’olunaku lwe mutalisobola kusaba museeseetulwe ku lwo wadde essaawa emu era nga bwe mutalisobola kusaba lubaleeterwe mangu (ne mukifuna)
Ayah 30وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَن نُّؤۡمِنَ بِهَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ وَلَا بِٱلَّذِي بَيۡنَ يَدَيۡهِۗ وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلظَّٰلِمُونَ مَوۡقُوفُونَ عِندَ رَبِّهِمۡ يَرۡجِعُ بَعۡضُهُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٍ ٱلۡقَوۡلَ يَقُولُ ٱلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُواْ لِلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ لَوۡلَآ أَنتُمۡ لَكُنَّا مُؤۡمِنِينَ
Abo abaakaafuwala ne bagamba nti: tetujja kukkiriza Kur’ani eno wadde ebyo ebyagikulembera naye singa osobola okulaba ekiseera abeeyisa obubi lwe baliyimirizibwa mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe abamu ekigambo balikissa ku bannaabwe (ekyabasuula mu buzibu), abo abaali batwalibwa okuba aba wansi baligamba abo abeetwala okuba aba waggulu nti singa temwali mmwe twandibadde bakkirizza
Ayah 31قَالَ ٱلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ لِلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُوٓاْ أَنَحۡنُ صَدَدۡنَٰكُمۡ عَنِ ٱلۡهُدَىٰ بَعۡدَ إِذۡ جَآءَكُمۖ بَلۡ كُنتُم مُّجۡرِمِينَ
Abo abaatwalibwanga okuba aba waggulu baligamba abo abaatwalibwanga okuba aba wansi nti: abaffe, ffe twabalemesa obulungamu bwe bwali nga bubajjidde (si bwe guli) wabula mwali bantu aboonoonyi
Ayah 32وَقَالَ ٱلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُواْ لِلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ بَلۡ مَكۡرُ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ إِذۡ تَأۡمُرُونَنَآ أَن نَّكۡفُرَ بِٱللَّهِ وَنَجۡعَلَ لَهُۥٓ أَندَادࣰ اۚ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّدَامَةَ لَمَّا رَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَۚ وَجَعَلۡنَا ٱلۡأَغۡلَٰلَ فِيٓ أَعۡنَاقِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۖ هَلۡ يُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ
N'abo abaatwalibwanga okuba aba wansi baligamba abo abeetwalanga okuba aba waggulu nti (si bwe kiri), wabula ezo zaali nkwe ze mwasalanga ekiro n’emisana bwe mwatulagiranga tujeemere Katonda netumussaako ba katonda abalala, olwo nno balikweka munda okwejjusa kebaliraba ebibonerezo era tugenda kussa enjegere mu nsingo zaabo abaakaafuwala, ye ate balisasulwa okugyako ebyo bye baakola
Ayah 33وَمَآ أَرۡسَلۡنَا فِي قَرۡيَةࣲ مِّن نَّذِيرٍ إِلَّا قَالَ مُتۡرَفُوهَآ إِنَّا بِمَآ أُرۡسِلۡتُم بِهِۦ كَٰفِرُونَ
Era tetutumanga mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga abawangaala obulamu obw'okwejalabya nga bagamba nti mazima ffe tuwakanya ebyo bye mutumiddwa nabyo
Ayah 34وَقَالُواْ نَحۡنُ أَكۡثَرُ أَمۡوَٰلࣰ ا وَأَوۡلَٰدࣰ ا وَمَا نَحۡنُ بِمُعَذَّبِينَ
Era ne bagamba nti ffe tusinga (mmwe) emmaali n’abaana era ffe tetugenda kubonerezebwa
Ayah 35قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ
Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti) mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluriza eby'enfuna oyo gwaba ayagadde ate n’abifundiza gwaba ayagadde, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi
Ayah 36وَمَآ أَمۡوَٰلُكُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُكُم بِٱلَّتِي تُقَرِّبُكُمۡ عِندَنَا زُلۡفَىٰٓ إِلَّا مَنۡ ءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحࣰ ا فَأُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ جَزَآءُ ٱلضِّعۡفِ بِمَا عَمِلُواْ وَهُمۡ فِي ٱلۡغُرُفَٰتِ ءَامِنُونَ
Era emmaali ya mmwe n’abaana ba mmwe si bye biyamba okusembera gye tuli okugyako (ekiyamba) ye muntu akkiriza naakola emirimu emirungi. Abo nno balifuna empeera enkubiseemu olw'ebyo bye baakola era bagenda kutuula ntende mu nyumba ensitufu
Ayah 37وَٱلَّذِينَ يَسۡعَوۡنَ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَٰٓئِكَ فِي ٱلۡعَذَابِ مُحۡضَرُونَ
N'abo abassa amaanyi mu kulemesa ebigambo byaffe bagenda kuleetebwa eri bibonerezo
Ayah 38قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُ لَهُۥۚ وَمَآ أَنفَقۡتُم مِّن شَيۡءࣲ فَهُوَ يُخۡلِفُهُۥۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّٰزِقِينَ
Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde mu baddu be ate naagifundiza (gwaba ayagadde), nabuli kintu kyonna kye muwaayo mazima yye akizzaawo era bulijjo yye yaasinga abagabirizi
Ayah 39وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعࣰ ا ثُمَّ يَقُولُ لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ أَهَٰٓؤُلَآءِ إِيَّاكُمۡ كَانُواْ يَعۡبُدُونَ
Era mujjukire olunaku lwalibakungaanya bonna oluvanyuma naagamba ba Malayika nti: abaffe abo be baasinzanga mmwe
Ayah 40قَالُواْ سُبۡحَٰنَكَ أَنتَ وَلِيُّنَا مِن دُونِهِمۖ بَلۡ كَانُواْ يَعۡبُدُونَ ٱلۡجِنَّۖ أَكۡثَرُهُم بِهِم مُّؤۡمِنُونَ
Baligamba nti wasukkuluma, ggwe Mukama waffe so ssi bo. Wabula bo baasinzanga majinni, abasinga obungi gebakkiririzangamu
Ayah 41فَٱلۡيَوۡمَ لَا يَمۡلِكُ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضࣲ نَّفۡعࣰ ا وَلَا ضَرࣰّ ا وَنَقُولُ لِلَّذِينَ ظَلَمُواْ ذُوقُواْ عَذَابَ ٱلنَّارِ ٱلَّتِي كُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ
(Katonda aligamba nti) kale nno olwa leero abamu ku mmwe tebagenda kuba na busobozi kugasa bannaabwe oba okubatuusaako akabi era tuligamba abo abeeyisa obubi nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa
Ayah 42وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتࣲ قَالُواْ مَا هَٰذَآ إِلَّا رَجُلࣱ يُرِيدُ أَن يَصُدَّكُمۡ عَمَّا كَانَ يَعۡبُدُ ءَابَآؤُكُمۡ وَقَالُواْ مَا هَٰذَآ إِلَّآ إِفۡكࣱ مُّفۡتَرࣰ ىۚ وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُمۡ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرࣱ مُّبِينࣱ
Ebigambo byaffe ebinnyonnyofu bwe bibasomerwa bagamba nti tali ono okugyako musajja ayagala okubajja ku ebyo bakadde ba mmwe bye baali basinza, era nebagamba nti (Kur’ani jazze nayo) eno teri okugyako bulimba obujingirire ate bo abaakaafuwala amazima bwe gamala okubajjira bagamba nti tebiri bino okugyako ddogo ery'olwatu
Ayah 43وَمَآ ءَاتَيۡنَٰهُم مِّن كُتُبࣲ يَدۡرُسُونَهَاۖ وَمَآ أَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهِمۡ قَبۡلَكَ مِن نَّذِيرࣲ
(Boogera ebyo naye nga) tetubawanga bitabo nti bye basoma era nga tetubatumiranga mutiisa yenna oluberyeberye lwo
Ayah 44وَكَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ وَمَا بَلَغُواْ مِعۡشَارَ مَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ فَكَذَّبُواْ رُسُلِيۖ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ
Era abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa (abaka baffe) ate nga (abantu b'e Makkah) tebaaweza kimu kya kkumi kye twawa bali, ate olwo nno nebalimbisa ababaka bange, naye nnababonereza ngeriki
Ayah 45۞قُلۡ إِنَّمَآ أَعِظُكُم بِوَٰحِدَةٍۖ أَن تَقُومُواْ لِلَّهِ مَثۡنَىٰ وَفُرَٰدَىٰ ثُمَّ تَتَفَكَّرُواْۚ مَا بِصَاحِبِكُم مِّن جِنَّةٍۚ إِنۡ هُوَ إِلَّا نَذِيرࣱ لَّكُم بَيۡنَ يَدَيۡ عَذَابࣲ شَدِيدࣲ
Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mbabuulirira n’ekintu kimu kyokka nakyo kwe kuba nga muyimirira ku lwa Katonda babiri babiri oba kinnoomu oluvanyuma mulowoorereze (mujja kutegeera) nti munnammwe (Muhammad) ssi mulalu tali yye okugyako okuba nti mutiisa gye muli (nga abatiisa) ebibonerezo eby'amaanyi bye mwolekedde
Ayah 46قُلۡ مَا سَأَلۡتُكُم مِّنۡ أَجۡرࣲ فَهُوَ لَكُمۡۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَى ٱللَّهِۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءࣲ شَهِيدࣱ
Bagambe nti ssibasaba mpeera yonna (empeera yonna eri emu) nayo ya mmwe, empeera eyange teri okugyako ku Katonda yekka. Era yye ku buli kintu (abeerawo) nga kikolebwa
Ayah 47قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَقۡذِفُ بِٱلۡحَقِّ عَلَّٰمُ ٱلۡغُيُوبِ
Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange akozesa amazima najjawo obulimba amanyidde ddala ebyekusifu
Ayah 48قُلۡ جَآءَ ٱلۡحَقُّ وَمَا يُبۡدِئُ ٱلۡبَٰطِلُ وَمَا يُعِيدُ
Bagambe nti obutuufu buzze era obutali butuufu tebuyinza kutandika nate era ssi bwa kudda
Ayah 49قُلۡ إِن ضَلَلۡتُ فَإِنَّمَآ أَضِلُّ عَلَىٰ نَفۡسِيۖ وَإِنِ ٱهۡتَدَيۡتُ فَبِمَا يُوحِيٓ إِلَيَّ رَبِّيٓۚ إِنَّهُۥ سَمِيعࣱ قَرِيبࣱ
Bagambe nti: bwemba mbuze mazima mba mbuze ku lwange naye bwennungama kiba kivudde ku bubaka Mukama omulabirizi wange bwantumira, mazima yye muwulizi nnyo ali kumpi ddala
Ayah 50وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ فَزِعُواْ فَلَا فَوۡتَ وَأُخِذُواْ مِن مَّكَانࣲ قَرِيبࣲ
Singa oliraba mu kiseera abakaafiiri bwe balitya (ku lunaku lw'enkomerero) tewaliba buddukiro era balikwatibwa nga bajjibwa mu kifo eky'okumpi ddala
Ayah 51وَقَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِهِۦ وَأَنَّىٰ لَهُمُ ٱلتَّنَاوُشُ مِن مَّكَانِۭ بَعِيدࣲ
Era baligamba nti tubikkiriza (ebyo Nabbi byagamba) naye wwa gye balijja okukkiriza nga bamaze okukuleka mu kifo eky'ewala (gye bavudde)
Ayah 52وَقَدۡ كَفَرُواْ بِهِۦ مِن قَبۡلُۖ وَيَقۡذِفُونَ بِٱلۡغَيۡبِ مِن مَّكَانِۭ بَعِيدࣲ
Mazima baabiwakanya oluberyeberye, era baatemerera obulimba ku bigambo ebyekusifu ebiri mu kifo eky'ewala
Ayah 53وَحِيلَ بَيۡنَهُمۡ وَبَيۡنَ مَا يَشۡتَهُونَ كَمَا فُعِلَ بِأَشۡيَاعِهِم مِّن قَبۡلُۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ فِي شَكࣲّ مُّرِيبِۭ
Newasiikirizibwa wakati waabwe ne wakati w'ekyo kye baagala nga bwe kyakolebwa oluberyeberye (ku abo) abalinga bo mazima bo bali mu kubuusabuusa okuleeta okutankana (ne batakkiriza)
Ayah 54